DR LAWRENCE MULINDWA AZIMBYE VIPERS SC OKUJITUUSA KU KUTWALA EBIKOPO BULI SIZONI

0

Mu mwaka gwa 2000, kirabbu esambira mu kibinja kya babinywera eya Vipers SC yalonda Lawrence Mulindwa ku bukulembeze bwa kirabbu era mu myaka ena gyokka, bano bali bawangudde ebikopo bya Divizoni 1 bibiri. Tebakomaawo, mu mwaka gwa 2010, nga Mulindwa aguze abasambi abalungi okuyimusa enkambi nga beegase ku liigi ye ggwanga enkulu eyayitibwanga Uganda Super League, bano bawangula ekikopo kya liigi ekisooka era nga okuva olwo tebadda mabega. Baddamu okutwala ekikopo kino mu 2015 wabula nga okuva olwo Vipers yafuuka ttiimu eyamanyi ddala nga kumpi buli sizoni ebadde ebaako nekyewangula.

st mary’s stadium amaka ga vipers ekulemberwa mulindwa

2010-etwala ekikopo kyayo ekya liigi ekisooka.

2015- eddamu ewangula ekya liigi.

2016- etwala ekya kakungulu.

2017/18- etwala ekyaliigi.

2019-etwala ekya Super cup.

2019/20-eddamu etwala liigi

2020/21-yatutte ekya kakungulu nga yakubye BUL fc 8-1.

Dr Lawrence Mulindwa ttiimu ajitaddemu amanyi okwongera okuvuganya zzinansangwa nga Villa, Express, URA, KCCA wamu ne Police fc. Awamu Vipers bakatwala ebikopo ebyokuntiko 7 nga kuliko ebyaliigi 4.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *