EDWARD KAZIBA OMUSAJJA OMULOKOLE ATE OMUKAKAMU. OLUGENDO LWE MU MUPIIRA.

0

Edward Kaziba Y’ani?

Ndi mutabani w’omusirikale eyakulira mu Barracks e Jinja, nensomerayo ne Primary yonna. Twazaalibwa abaana 6, abalenzi 3 n’abawala 3.

Wasamba ku mupiira?

Nagutandikira Lubaga ku kerezia e Jinja nga faaza atutendeka nengusamba ne mu primary lwakuba nagutandikira mu P.6. Taata waamala emirimu, twasenga mu kyalo e Ddundu e Mukono, n’ensomera ku St. Josephs e Naggalama, nasambirako ne Nakasajja ku ttiimu yekyalo, omwami Kezekia Musisi nandaba nantwala e Kampala nenegatta ku Barclays Bank mu Divizoni, nenzira ku UCB nga etendekebwa Ben Omonding. Olwo nengenda mu Tobacco mu 1983-1988, nenegatta ku KCC gyenafunira obuvune.

Oli wa ddiini ki?

Ndi Mulokole, nalokoka nvudde mu KCC, omukyala Jennifer Robins Nambafu nantwala ku Miracle Centre gyenasabiranga ate nga erina ttiimu gyeneyongera okusambira.

Otandika ddi obutendesi?

Ntandikira ku Miracle nga nsamba wentendeka mu Divizoni ye Mityana, wetwegatta mu suppa mu 1993, nenfukira ddala omutendesi ngatuli ne Mike Mutebi ne Butimbe, bo nebagenda nensigarawo. Awo ntendese ku Standard High e Zzana 2006, Lawrence Mulindwa nanonda ku ttiimu ya Uganda eya U20, oluvannyuma nenegatta ku ttiimu ye ggwanga eyabakyala kwenkyali nakati ate ne Villa Joggo Young nempita nenjitendeka 2007-2011 okwali ba Muleme, Baba Kizito, Jajja Walu, olwo 2019 nenegatta ku SC Villa enkulu. Ntendese ne kika kyaffe eky’empindi.

Ebyokusoma wabikomya wa?

Nakoma mu S.6 e Kampala, nenkola ne UCB mu kuweereza mu office.

Ebibyo ne Villa byawedde, kati oddawa?

Bangi bantukirira, naye nkyetegereza, saagala kudda mumbeera nga eya Villa, njagala neetegereze nfune awantu awatuufu.

Musambiki gwotendese gwosinga okwenyumirizaamu?

Bangi, siyinza kusosola ate nga batuuse wala.

Mutendesi ki eyakwagaza okutendeka?

Arsene Wenger.

Owagira Ttiimu ki ebweru newano?

Arsenal naye wano sirina, nakula ndaba Police engeri gyenali mu Barracks nga gyenjagala.

Kirungi ki n’akibi ki byosanze mu lugendo lwo?

Ekirungi lwelunaku lwenasooka okusambira UCB nga tuzannya Prison nga nina emyaka 18 gyokka. Ekibi lwerunaku ttiimu yaffe eya Tobbacco lweyasalibwako mu 1984.

Magezi ki gowa abaana abagala ompiira?

Butabawaanawaana n’obutapappira ssente mu mupiira. Basooke bazimbe ekitone kyaabwe.

Byowangudde?

1979 ku UCB twawangula ekikopo kya Divizoni, mpangulidde empindi ebikopo bibiri ebyebika, ekikopo kya East Africa ku Standard high, ate nsinga kwenyumiriza mu baana bentendese obulamu bwaabwe nebukyuuka.

Oli Mufumbo?

Omukyala twayawukana naye ndi mumativu. Nina abaana bana abawala 3 n’omulenzi omu ababiri bali n’abweru

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *