Aston Villa ezze ewaga.
Aston Villa mu gwe yasembyeyo, yakubye Sheffied United (5-0) ku Lwomukaaga mu Premier . Ekitundu ekisooka kyaweddeko bakulembedde 4-0 ekyawedde omutendesi wa Unai Emery ebeetu okuwummuza ku bamu ku bassita be nga yeetegekera ensiike ya leero.
Leero, bakyaza Chelsea mu gw’okudding’ana nga balwana okwesoga oluzannya lwa ttimu 16 mu FA Cup.Ogwasooka gaggwa maliri 0-0 ng’awangula wano waakusisinkana eyayiseewo eggulo wakati wa Leeds ne Plymouth.