Abazannyi ba She Cranes ttiimu y’eggwanga ey’okubaka n’abakungu bagenze e Bungereza n’akamwenyumwenyu ku makatama oluvannyuma lwa Gavumenti okubawa akasiimo ka bukadde 3 n’emitwalo 79 mu 1000/- buli omu.

Eggulo ku Lwokutaano ttiimu bwe yabadde esiibulwa mu butongole ku woteeri ya Cooper Chimney e Lugogo, minisita omubeezi ow’ebyemizannyo mu ggwanga Peter Ogwang eyabadde omugenyi omukulu yalagidde akakiiko akatwala emizannyo mu Uganda aka National Council of Sports (NCS) okuteeka ssente zino ku akaawunti ya buli muzannyi n’abatendesi.

Mu ngeri y’emu Minisita yagumizza omutendesi wa She Cranes Fred Mugerwa Tabale okusigala nga mugumiikiriza, oluvannyuma lw’emyezi mukaaga ng’akakiiko ak’ekiseera (Normalization Committee) akaddukanya emirimu gy’ekibiina ky’okubaka kamalirizza obuvunaanyizibwa obwakakwasibwa, Gavumenti y’egenda okutandika okusasula omusaala gw’omutendesi.

“Kino kye kiseera buli muzannyi okwolesa omutindo omulungi okusikiriza ttiimu za Bazungu okubatwala ku pulo, mbasaba mukuume empisa, tewabaawo omuzannyi abulira Bungereza ate mubeere bagumu nti Gavumenti erwana okumalawo endooliito mu kibiina ky’okubaka mu ggwanga,” Ogwang bwe yategeezezza.

E Bungereza She Cranes gy’eraze, yaakuggulawo n’ensiike ssatu ez’omukwano nga battunka ne Wales ku Lwokusatu wiiki ejja, ku Lwokuna ne ku Lwomukaaga mu kibuga Cardiff.

Oluvannyuma baakusala eddiiro bagende mu kisaawe kya OVO Arena Wembley ne First Direct Arena mu kibuga Leeds gye bajja okuttunkira ne Australia, New Zealand ne Bungereza mu mpaka za Vitality Netball Nations Cup ezitandika January 20 zikomekkerezebwe January 28, 2024.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *