Ekibiina ekiddukanya obugaali mu (Uganda Cycling Association )UCA , kisomesezza abantu 34 abannaalamula omuzanyo guno.

Pulezidenti wa UCA,Sam Mahaba Muwonge ye yabakwasizza satifikeeti n’agamba nti abalamula obugaali babadde batono ekikonzibizaamu omuzannyo.

Baabadde mu Madirisa Zooni e Makidye.

Abayizi bano abaavudde mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo baasomeseddwa ku byetaagisa mu kutegeka empaka okugeza , okusooka okutukirira poliisi , okuba ne ambyulensi , n’ebirala.

Waliwo abategeka empaka nga tebasoose kwebuuza ku UCA ekyongera pkufeebya omuzannyo.

Tugenda kukirwanako mu 2024  twongere n’okubunyisa emisomo nga guno mu ggwanga. Mahaba bwe yategeezezza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *