Eyali ssita wa Man U ,Wayne agobeddwa ku butendesi bwa Birmingham lwa mutindo gwa kibogwe.

Omulimu guno Rooney agumazeeko wiiki 13 nga mu mipiira 15 wansi we, bawanguddeko 2 gyokka.

Birmingham, ezannyira mu Championship , yagisanga mu kyamukaaga agirese mu kya 20.

Oluvannyuma lw’okugobwa, Rooney yagambye agenda kusooka amale obudde ne mukyala we n’abaana nga tannadda mu mupiira.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *