Omutendesi wa SC Villa, Dusan Stojanovic afunye ku  buwereero batabani be bwe bamezze UPDF ggoolo 3-0 mu liigi ya babinywera eya Startimes Uganda Premier League.

Villa yazze mu nsiike eno nga Stojanovic ali  ku puleesa y’abawagizi abamubanja Ivan Sserubiri gwe yakuba akatebe n’amusikiza bamusaayimuto Ronald Ssekiganda , Hamza Ngonde ne Diego Hamis Ssemugera.

Abawagizi bagamba  tebalaba nsonga etuuza omuwuwuttanyi ono.

Eggulo nga bakuba UPDF, Sserubiri era teyazannye wadde okubeera ku katebe.

Ssemugera ye yagutandise n’avaayo oluvannyuma Ngode n’ayingira.

Wabula abaabadde babanja Sserubiri bakkakkanye mpolampola kuba ttiimu eyazannye yabawadde essanyu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *