Express FC ereese Isabirye okusikira Odoch.

0

Express FC mukwano gw’abangi ewonyezza Alex Isabirye Musongola akatebe bw’emuwadde omulimu ng’omutendesi waabwe ow’ekiseera okutuusa nga sizoni eno eweddeko.

Eggulo Lwakuna (December 7, 2023), Express yalangiridde Isabirye ku ndagaano ya sizoni eno yokka wabula ssinga akola bulungi, abakungu baakutunulira endagaano okugizza obuggya.

Ono azze mu kifo kya James Odoch eyakwatiddwa ku nkoona ku Lwokubiri (December 6, 2023) olw’omutindo gwa ttiimu ogw’ekiboggwe.

Express ebadde egenze emipiira etaano nga terinaamu wiini yonna oluvannyuma lw’amaliri ga mirundi esatu (1-1 UPDF), (0-0 Wakiso Giants) ne (1-1 Bul FC) wamu n’okubwa URA (2-1) ne Maroons (1-0 Express).

Isabirye abadde amaze emyezi ena (4) nga talina mulimu oluvannyuma lw’okusuulawo Vipers SC mu July w’omwaka guno bwe yali yaakabayamba okufuuka Ssaalongo bwe baawangula ekikopo kya liigi sizoni ewedde ne Stanbic Uganda Cup omulundi ogusookedde ddala mu byafaayo.

Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa Express FC eggulo (December 7, 2023), Isabirye yaweereddwa eddimu ly’okununula ttiimu okuva mu kifo ekyo 7 n’obubonero 13 mu mipiira 9 esembere ku mwanjo.

Ono asuubirwa okutandika emirimu mu butongole leero (Lwakutaano) nga Express ekyazizza SC Villa ku kisaawe kya Muteesa ii e Wankulukuku.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *