Gavumenti ewadde ensonga 12 ku tteeka ly’emizannyo eppya.

0

Abakungu n’abakiise b’omuzannyo gw’emmotoka z’empaka mu ggwanga bajjaganyizza olw’etteeka ly’ebyemizannyo eppya eryateereddwaako omukono pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okugobererwa sizoni ejja.

Mu ttabamiruka ow’ennyongereza (extra Ordinary General Assembly) gwe baabaddemu ku wiikendi ku woteeri ya Cooper Chimney e Lugogo, Ssaabawandiisi w’akakiiko ka NCS akatwala emizannyo gyonna mu ggwanga Dr. Bernard Patrick Ogwel yabasunsulidde ensonga 12 Gavumenti z’ebasuubiramu sizoni ejja okutambulizaako ensonga z’ekibiina.

Okusinziira ku Ogwel n’etteeka eppya, ekibiina ky’emmotoka z’empaka kyasabiddwa okukola ennongoosereza mu konsitityusoni yaakyo okutuukana n’ensonga empya ezirina okugobererwa.

Baasabiddwa okukola enteekateeka nnamutayiika esobola okutambulirwako omuzannyo okumala emyaka egitakka wansi wa 10 (Ten Years Master Plan).

Omuzannyo okuguzza mu ligyoni z’ebyalo okusinga okwetoloolera mu kibuga. Sizoni okukomekkerezebwa nga waakiri omuzannyo gubunye eggwanga ebitundu 75 ku buli 100.

Ebisaawe by’omuzannyo ebivugibwamu empaka ez’akafubutuko (Sprints) wamu ne ddigi mu byalo birina okuzimbibwa okwefanaanyirizaako ekiri e Busiika ne Garuga.

Ekibiina kirina okufuna abakugu oba abatendesi abategeera omuzannyo okutalaaga mu masomero nga banoonya ebitone ebito naddala mu muzannyo gwa ddigi ebijja okuddira mu bigere abo abakaddiye.

Kiraabu z’omuzannyo ekibiina kya FMU kirina okubeera n’enteekateeka okuzidduukirira kuba ze ziyimirizzaawo omuzannyo naddala mu kutegeka empaka ez’enjawulo.

Mu ngeri y’emu abazadde b’abavuzi ba ddigi balina okudduukirirwa naddala mu kugula pikipiki ezivugibwa oba engatto, ebyambalo, obujjanjabi ssinga bafuna obuvune, amafuta oba ensonga endala yonna kuba bano be beesigamwako omuzannyo okukola amakulu mu ggwanga.

Pulezidenti wa FMU ne kiraabu ez’enjawulo zaakubiriziddwa okunoonya abavujjirizi, kkampuni z’obwa nnannyini okukwatirako omuzannyo era buli kiraabu eneefuna omuvujjirizi, Gavumenti yaakubakwatirako okutuukiriza ebigendererwa byabwe.

Entalo mu kibiina ky’emmotoka z’empaka baasabiddwa okuzigonjoola kuba Gavumenti tegenda kuteeka ssente mu kibiina kyonna ekirimu okwerumaaluma.

Abavuzi abalina okwetaba mu mpaka za Afrika n’ensi yonna, FMU yasabiddwa okuwaayo embalirira ezitaliimu kyekubiira mu budde eri Gavumenti okubakwatirako.

Omuzannyo gw’asabiddwa okukomya okuvuga embako ku mutendera gwa bakyakayiga, ky’ekiseera gufuuke pulo nga waliwo omutemwa gwa ssente oguvuganyizibwako eri abawanguzi wamu n’ebirabo eby’enjawulo.

Bano baakuutiddwa buli ssente Gavumenti z’ebawa balina okuzikolera embalirira ejjudde ate mu butuufu bwayo awatali bukuusa bwonna wadde enguzi.

Abatu kye bagamba.

Ponsiano Lwakataka (Muvuzi); Nsanyukidde ekintu kimu ly’etteeka ly’ebyemizannyo eppya, likkirizza pulo mu muzannyo tetukyavugira bitole bya mmere, Gavumenti egenda tuyambako okuvuga WRC ne ARC, omuzannyo mu byalo kigenda kukyusa bingi.

Carol Kategano (wa kiraabu ya UMC); Nze nkyebuuza obulagajjavu mu babalirizi b’ebitabo n’abawanika olw’ebibalo n’embalirira z’ekibiina okubeerangamu ebituli, tosobola kutuleetera alipoota ya bya nsimbi, teraga mabanja, ensaasaanya ssente ezimu teziraga gye zaava, ennyingiza tetegeerekeka, omugatte mufu ku ssente ezirambikibwa, kiki kkyo.

Justine Mungoma (wa kiraabu ya UMOSPOC); Twetaaga kucuusa kkampuni ya ssaababalirizi ng’obudde bukyali kuba etulaze ku ntandikwa nti ebintu abikola kifuulannenge.

Omar Mayanja (wa FMU); Nsaba bannamuzannyo tubeere bumu, okukaayana n’okwerumaaluma tebitutwala mu maaso, buli kimu tukikolere wamu kitole omuzannyo guwangule.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *