Bulemeezi ye w’omupiira gw’amasaza 2023.

0

Essaza lya Bulemeezi liwangudde ekikopo ky’omupiira gw’amasaza 2023, liwangudde Gomba ku goolo 1:0

Kino kye kikopo kya Bulemeezi eky’omulundi ogwokusatu, so nga Gomba ebadde erwana kufuna kya 6 kigiyise mu myagaanya gya ngalo.

Omupiira guno oguyindidde mu kisaawe e Wankulukuku, gwetabyeko enkumi n’enkumi z’abawagizi.

Bulemeezi omwaka guno efunye obuwanguzi bwa Nnamasaasaana, kubanga ebadde kyejje ewangule empaka z’Amasaza ez’Obuweereza obusukkulumye mu nkola y’emirimu 2023.

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda II asiimye n’akiikirirwa Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga, era yakwasizza ba nnantameggwa b’empaka z’Amasaza ezomulundi ogwe 19 ekikopo, ne cheque ya Bukadde bwa shs 12.

Goolo ya Bulemeezi eteebeddwa muyizzi tasubwa Ssenyonga Johnson, nga agiteebedde mu kitundu ky’omuzannyo eky’okubiri.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yayambazizza aba Gomba emidaali olw’okukwata ekyokubiri, nabakwasa ne cheque ya bukadde bwa shs 9.

Minister w’abavubuka Ebyemizanyo n’Ebitone Owek Ssalongo Sserwanga Robert agambye nti Empaka zino zibadde nnyuvu ebitagambika, olwokwaagala abawagizi kweboolesezza, n’okuwagira ttiimu zabwe obutasalako.

Omwami wa Ssaabasajja atwala essaza Bulemezi Kangaawo Omulangira Ronald Mulondo, agambye nti atuuse ku kkula eritali lyabuliggyo.

Batabani ba Kitunzi e Gomba abakulembeddwaamu abatendesi okubadde Felix Kawooya ne Musoke Bashir ow’ebyekikugu ku tiimu ya Gomba, bakkirizza nti bawanguddwa, kyokka nebawera nti bakomawo omwaka ogujja n’amaanyi.

Mu mupiira ogwokulwanira ekifo ekyokusatu Mawokota ekkakkanye ku Buddu neegisinsimula goolo 3-0,era Mawokota neefuna cheque ya bukadde bwa shilling za Uganda 7 okuva mu centenary bank.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *