Kabaka teyalabiseeko mu fayinolo y’amasaza.

0

Ssaabasajja teyalabiseeko ku fayinolo y’empaka z’amasaza nga Gomba ettunka ne  Bulemeezi e Wankulukuku.

Akiikiriddwa Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga ku fayinolo eno. Era nga ttiimu zombi zeetegekedde fayinolo eno bulungi wakati mu bawagizi bazo abaakedde okweyiwa mu kisaawe kino.

Gomba yaakuzannya nga terina mutendesi waayo, Felix Ssekabuuza wamu ne kapiteeni waayo, Tonny  Atugonza olw’ekkoligo lya kaadi ez’abaweebwa ku luzannya lwa semi nga battunka ne Buddu.

Gomba yawandudde Buddu ku mugatte gwa ggoolo 3-1 ,ate  Bulemeezi newandulamu Mawokota ku ggoolo 5-4 mu kakodyo ka  peneti.

Mu mupiira ogw’okulwanira ekyookusatu ogusooseewo, Mawokota ekubye Buddu 3-0.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *