Omutendesi wa KCCA FC ow’ekiseera, Jackson Magera atandika leero emirimu mu butongole wakati mu bawagizi okulindirira ekipya ky’aleeta.
Battunka ne NEC mu liigi y’eggwanga nga guno Magera gw’atandikirako eddimu
ly’okuzza ttiimu eno engulu. Ku Mmande, KCCA yafuumudde omutendesi waayo
Omuportugal Sergio Traguil olw’omutindo omubi n’emusikiza Magera. Traguil
yagenze okugobwa nga KCCA terina wiini mu mipiira 4 egyagguddewo
liigi.
Mu nsiike eno egenda okuyindira e Lugogo ttiimu zombi gye zikyaliza, Magera
eyayamba Villa okumalira mu kyokusatu sizoni ewedde, abawagizi beesunze okulaba
ttiimu gy’ayungula. Buli mupiira, kumpi Omuzungu abadde akyusa abazannyi abasoba mu 4 mu ttiimu nga kati ekirindiddwa kwe kulaba Magera abazannyi b’atandisa.
Ekyokubiri, abawagizi beesunga okulaba oba ttiimu yaabwe eneefuna wiini esooka
mu liigi. Magera yategeezezza nti essaawa eno atunuulidde wiini era bagenda kugifuna
kuba y’engeri yokka ebakomyawo engulu.
“Tewali kirala okuggyako okuwangula. NEC si nnyangu kuba ekisaawe ekimanyi ate
erina ku bazannyi abalina obumanyirivu.
Tulina kugizannya na buvunaanyizibwa era buli muzannyi ansuubizza okufiirawo,” Magera bwe yategeezezza.
Muhammad Shaban, omuteebi wa KCCA akulembera ekyoto abuusibwabuusibwa
okuzannya olw’omusujja kyokka Simon Kakonde, eyakaligibwa emipiira munaana
sizoni ewedde, akomyewo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *