Uganda amasso egatadde ku Mangat okugiggyako ekikwa mu za Afrika.

0

Emikisa gya Uganda okuddamu okufuna ku ssanyu ly’engule ya Afrika mu muzannyo gw’emmotoka z’empaka lisigadde mu kyampiyoni wa NRC 2012, 2013 ne 2016 Jas Mangat ali mu kifo ekyokubiri ku kalenda y’omwaka guno.

Ku wiikendi Uganda yakiikiriddwa abavuzi babiri ku ngule eno mu mpaka eza FIA Sarago Zambia International Rally ezaabadde eziddirira ezisemba okuggalawo kalenda ya ARC omwaka guno mu kibuga Lusaka.

Bannayuganda baabadde batunuulidde Yasin Nasser mu Ford Fiesta R5 MK2 eyayingidde empaka zino nga y’akulembedde ku ngule n’obubonero 93 wabula eby’embi mmotoka yafiiridde wakati mu lugendo era n’awanduka.

Patel eyaziyingidde ng’ali mu kyakubiri mu Ford Fiesta R5 n’obubonero 90 ye yaziwangudde bwe yavugidde essaawa (1:59:54) n’aweza obubonero 120 ku ntikko ya kalenda, Mangat mu mmotoka empya ekika kya Hyundai i20 R5 yaziyingidde ng’ali mu kyakusatu n’obubonero 87, yamalidde mu kyakubiri ng’akozesezza essaawa (2:03:47) ekyamukomezzaawo mu kibalo ky’engule.

Omugenzi Charles Muhangi mu Subaru Impreza GC8 ye munnayuganda yekka eyali awanguddeko ku ngule eno mu 1999, gye myaka 24 nga Uganda erwana okumalawo ekikwa kino.

Esigadde empaka za mulundi gumu ezigenda ku muliraano e Tanzania wakati wa November 10 ne 12 eziggalawo kalenda ya Afrika. Mangat yeetaaga kuwangula mpaka zino ate asabirire Patel amalirire okuva mu kifo ekyokusatu n’okukka wansi oba awanduke.

Ekiwa Mangat enkizo y’emmotoka empya gye yaguze esinga eya Patel amaanyi ate aludde mu mpaka zino okuva sizoni ya 2012/2013 ekimuwa obumanyirivu obusinga ku bwa Patel eyakagitandika wadde bombi banoonya ngule sooka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *