Omuzibe wa maaso, Fred Masisa y’omu ku baddusi abeepikira emizannyo gya baliko obulemu egya Paralympic games egy’okubeera mu kibuga Paris ekya Bufransa omwaka ogujja.

Okulaba ng’ono akola obudde obumutwala e Bufransa, Masisa okutendekebwa okwakaasa mmeeme okukolera mu Kisaawe e Makerere wansi w’omutendesi James ssenkungu ng’ayambibwako omuyambi we Joshua Jagalo.

Masisa nga muyizi ku ssetendekero e Makerere mu mwaka gwe ogusemba agamba azaalibwa mu disitulikiti y’e Sironko nga  yazaalibwa mulamu . Wabula ebyamuviirako okuziba amaaso nakati abijjukira bulungi.

“Nazaalibwa ndi mulamu wabula mba mpeza emyaka mukaaga ne nfuna obuzibu ku maaso bwe nnali nzannya n’essuuka mu maaso. Okuva olwo siddangamu kulaba,” Masisa bwe yategeezezza.

Masisa mu buto bwe yayagalanga nnyo okudduka nga bwe yali tannazibira ddala mu maaso mu kibiina ekyokutaano, y’omu ku baddukanga emisinde gy’essomero.

Olugendo lwe olw’emisinde yalutandika mu 2012 bwe yali asoma siniya ku ssomero lya bamuzibe  erya Madera St. Francis Secondary School for the blind.

Mu 2017 bwe yaweebwa ekifo e Makerere okubanguka mu busomesa , eno gye yasisinkana omutendesi wa baddusi abaliko obulemu, James Ssenkunga eyayongera okumwagaza emisinde.

Masisa adduka mmita 100 ne 400 mu mutendera gwa T11 nga guno  omuddusi adduka alina kiyambi atalina buzibu na kulaba . Ssinga ono amala n’ayitawo okukiika mu mizannyo gya Paralympics ajja kuba omuddusi omuzibe asoose okukiikirira Uganda mu mizannyo gino.

photo credit:URN.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *