FIFA efulumizza olukalala lw’amawanga agasinze okucaanga endiba mu.

0

Ttiimu yéggwanga eyómupiira ogwébigere eya Uganda Cranes erinnye ebifo 4 munsengeka y’amawanga  gonna nga bwegayimiridde mu kucanga endiba, ezifulumiziddwa ekibiina ekiddukanya omupiira munsi yonna ekya FIFA.

Uganda Cranes ekwata ekifo kya 89 nóbubonero 1259 okuva mu kifo ekye 92 kyebaddemu.

Uganda okulinnya munsengeka zino kivudde ku buwanguzi bwa goolo 2-0, bweyakuba Niger mu mpaka ezókusunsulamu amawanga aganaakiika mu Africa Cup of Nations ezómwaka gwa 2024, wadde Uganda yalemeredwa okukiika mu mpaka zino.

Ku semazinga Africa, Uganda ekwata ekifo kya 18 ate nga yekulembedde mu bitundu ebyóbuvanjuba námasekati ga Africa, Kenya yakubiri, Tanzania yakusatu, Rwanda yakuuna nabalala.

Ku semazinga Africa, Morocco yekulembedde ate nga munsi yonna ekwata kya 13, Senegal yakubiri munsi yonna ya 20.

Tunisia yakusatu ate munsi yonna ya 29, Algeria yakuuna ate munsi yonna ya 34,  Misiri yakutaano  munsi yonna ekwata kya 35.

Munsi yonna Argentina esigadde yékulembedde nóbubonero 1851, France ya 2 nóbubonero 1840, Brazil 3, Bungereza ya 4, Belgium 5, Croatia 6, Budaaki 7, Portugal 8, Italy 9ate nga Spain ya 10 nabalala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *