Owa She yeemulugunya ku nnamula ya baddiifiri b’okubaka.

0

Omutendesi wa She Cranes ttiimu y’eggwanga ey’okubaka asabye abazannyi be obuteemulugunya ku baddiifiri bafuuwa amancoolo mu mpaka za World Cup wabula essira balisse ku kuzannya. Fred Mugerwa agambye nti abazannyi be nti balina kusigala nga bakola ogwabwe ebirala babirekere Katonda.

Bano bakomyewo mu nsiike nga battunka ne Jamaica ku mutendera gwa ttiimu 16 nga balwanira ‘quarter’.

She Cranes yamazeeko kibinja D nga yaakubiri ku bubonero 4 bwe baawangudde Singapore (79-37) ne Trinidad and Tobago (74-34) wadde baakubiddwaamu New Zealand (54-44).

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *