Gazelles etaddewo ekyafaayo mu Basketball wa Afrika.

0

Gazelles ttiimu y’eggwanga ey’abakazi ba basketball etaddewo ekyafaayo ky’ebadde tekolangako bw’emalidde mu kifo kyamusanvu mu mpaka za Afrika (Women’s Afrobasket 2023) eziyindira mu kisaawe kya Kigali Arena ekya Rwanda.

Kino kyaddiridde Uganda okumegga Guinea 85-44 mu nsiike ey’okulwanira ekyomunaana ne musanvu eyanyumidde ennyo abawagizi n’okubongera essuubi nti omuzannyo guno gweyongedde ebbugumu.

Empaka zino zaatandika wiiki ewedde (July 28) nga zikomekkerezebwa nkya (Ssande). Uganda ebadde ezeetabamu mulundi gwa kusatu oluvannyuma lwa 1997 ne 2015.

Sizoni zombi babadde tebavangako mu kibinja. 1997 baamalira mu kifo kya 10 nga tebaafunyeeyo wadde wiini ate 2015 baakwata kya 9 bwe baakuba South Africa 55-43 mu kibinja ne Nigeria (75-73) mu gy’okulwanira ebifo.

Okukiika mu z’omwaka guno baayitirawo mu kalulu oluvannyuma lw’okukubwa Misiri 74-56 ku fayinolo y’ezokusunsulamu eza Zone 5 ezaali mu MTN Arena e Lugogo.

Wadde baggudewo na kukubwa Mali (80-66) mu gy’ekibinja naye omutindo gwa sizoni eno gusinzeeko ezasooka bwe baawangudde Senegal (85-83), ne bakuba DR. Congo (78-62) ku mutendera gwa ttiimu 16 okwesogga ‘quarter’ gye baawanguddwa Rwanda abategesi (66-61), Mozambique nayo n’ebalemesa ekifo ekyo 5 ne 6 wabula ne bamegga Guinea (85-44).

Eno ye sizoni y’omutendesi Alberto Atuna esoose ku ttiimu ya Gazelles agamba nti musanyufu n’omutindo abazannyi gwe baayolesezza mu mpaka zino ate akyabalinamu essuubi kuba ttiimu yonna ya bawala bato era ssinga anaasigala nga ye mutendesi waabwe, ebibala bingi byw basobola okutuukako.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *