Omusawo Ntege asuubizza obutaswaza Uganda mu muzannyo gwa scrabble.

0

Omusawo omukugu, Dr. Christopher Ntege akulira omutindo mu tterekero ly’eddagala lya Gavumenti agenda kwongera kulaga ttalanta mu muzannyo gwa scrabble (ogw’okuwandiika ebigambo).

Ntege ng’azannyidde omuzannyo guno emyaka egisoba mu 20 yekka y’aweereddwa viza okutenda mu Los Angeles ekya Amerika awategekeddwa empaka z’ensi yonna omwaka guno nga July 22-26.

Pulezidenti wa Scrabble Association of Uganda, Nelson Woira Kyagera ategeezezza nti abazannyi basatu abalondeddwa ku ttiimu y’eggwanga Ntege yekka ye yafunye viza okugenda mu Amerika.

“Twasaba visa okuva mu March wabula abazannyi baffe babiri okuli; Dr. Edgar Odongokara ne Ivan Ssentongo baazibammye. Uganda kati yaakusatu mu Afrika mu kuzannya scrabble era batuwa abazannyi basatu okugenda mu mpaka za World Championships. Tusiima NCS okutuwa tikiti etwala Dr. Ntege okukiikirira eggwanga,” Kyagera bwe yategeezezza.

Dr. Ntege agambye nti yatandika okukiikirira Uganda mu World Championships e London mu 2025 n’akwata kya 80 n’addako ez’e Mumabi mu Buyindi mu 2007 olwo ne bazzaako ez’e Nairobi mu Kenya nga Uganda yamalira mu kyakusatu.

“Ng’enda mu World Championship eyookuna era ng’enda kukozesa bukugu bwange bwonna. Nsuubiza okweyambisa ennyo olulimu lw’ekisawo okusobola okuwandiika ebigambo era nsuubidde okukwata ekifo eky’oku mwanjo mu mpaka zino,” Dr. Ntege bwe yategeezezza nga omumyuka wa ssaabawandiisi wa NCS, David Katende amukwasa bendera y’eggwanga e Lugogo.

Ye pulezidenti Kyagera agumizza abammiddwa viza n’abalala nti beetegekere empaka za Afrika ezigenda okubeera e Nigeria nga August 24-28 nga zino zaakubaamu abazannyi abali wansi w’emyaka 19 basatu n’abakulu 12.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *