Kiraabu ya Entebbe Golf Club egudde mu bintu bw’efunye obukadde 250 obw’okugiyamba okwetegekera empaka za Singleton Golf Chalenge ez’omwaka guno.

Empaka zino zaakubaawo ku Lwomukaaga luno ku Entebbe Golf Club era nga lwe ziweza emyaka musanvu nga zizannyibwa.

Eunice Wewawu, akulira ebyensimbi mu kkampuni ya Uganda Breweries Limited mu kuwaayo ceeke y’obukade 250, yategeezezza nti empaka z’omwaka guno zisuubira okubeeramu ebbugumu lingi.

“Tuli basanyufu olwa Entebbe Golf Club okututeerawo empaka zino abazannyi ba golf mwe balagira ebitone ate twebaza n’abavujjirizi abalala,” Wewawu bwe yagambye.

Singleton Golf Challenge erimu abavujjirizi abalala okuli Uganda Airlines abagenda okutwala omuwanguzi awali ekirabo kye. Kkampuni ya CFAO awaddeyo emmotoka ekika kya Fortuner SUV eri omuwanguzi ne Afrisafe aba yinsuwa.

Empaka zino zaakuzannyibwa okumala emyezi etaano nga zitandika wiikendi eno zikomekkerezebwe nga December 2.

Sizoni eno, yaakubelamu abazannyi ba golf okuva mu buli kitundu ky’eggwanga era nga bano bagenda kulwanira ebirabo n’ensimbi enkalu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *