Moses Golola owa Uganda, ow’ensambaggere alumbye abasawo n’abamu ku bakulira eby’obulamu ku ofiisi zaabwe e Wandegeya n’abakozesa dduyiro gwe babadde bateetegekedde abakamudde entuuyo ne bawejjawejja abalala ne babivaamu ng’emitima gibabiridde.

Golola okutuuka ku kino ali mu kaweefube wa kukunga na kujjukiza Bannayuganda ku lunaku lw’eggwanga lyonna olw’okukolerako dduyiro mu Uganda yonna n’ekigendererwa eky’okulwanyisa endwadde ezitasiiga ezimalawo abantu baffe buli lunaku.

Ono yeegatiddwaako minisita omubeezi ow’ebyobulamu ebisookerwako mu ggwanga Margaret Muhanga Mugisa eyalabudde Bannayuganda abanywa ennyo omwenge n’ebitamiiza, abettanira eby’amasavu, abeevuga n’okutambulira ku bidduka buli lunaku, abatuula ennyo mu ofiisi okumala essaawa empanvu n’ebirala kyokka ne batafaayo kukola dduyiro emibiri okutuuyanamu.

Okusinziira ku kunoonyereza kw’ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna 2014, Bannayuganda 353,000 be bafa buli mwaka nga bakola ebitundu 27 ku 100 wabula endwadde 4 ezitasiiga ezikyasinze okutta Bannayunda okuli; ez’omutima, puleesa, Kookolo ne sukaali, zikola ebitundu 21 ku 100 kw’ebyo 27 eby’abafa.

Ku Ssande eno (June 18, 2023), Bannayuganda bonna baakwegatta ku Minisitule y’ebyobulamu ku kisaawe e Kololo okujaguza olunaku lwa dduyiro olw’omulundi ogwokusatu mu byafaayo by’eggwanga n’ekigendererwa ky’okulwanyisa endwadde ezitasiiga okukendeeza ku sipiidi kwe butambulira.

“Nze Golola nasazeewo okusaddaaka obulamu bwange n’obudde okuyambako buli muntu yenna eyeetaaga dduyiro, era nsaba Gavumenti ennyambeko ntandike okutambula mu masomero okutendeka abaana abato, endwadde tuzirwanyise okuva wansi,” Golola bwe yategeezezza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *