Essanyu libugaanye enkambi ya She Cranes (ttiimu y’eggwanga ey’okubaka), Brig.Flavia Byekwaso pulezidenti w’ekibbiina ky’okubaka ew’ekiseera bw’abakakasiza nti bafunye ssente ezitegeka ttiimu egenda mu World Cup.

Gavumenti yawadde She Cranes obukadde 968 ezirudde nga tezituuka ku akawunti y’ekibiina ky’okubaka.’’Wadde toil ku ttiimu egenda South Afrika,teri agenda kuzannyira She Cranes ku bbanja.Buli omu waakufuna ensako n’omusaala ennaku z’anaamala ku ttiimu,’’ Brig.Byekwaso bwe yagambye.

She Cranes yayingidde enkambi y’okusuzibwayo ku wiikendi n’abazannyi 19 nga beetegekera World Cup y’okubaka e South Afrika mu kibuga Cape Town wakati wa july 28-August 6.

Ensi 16 zezigenda okwetaba mu mpaka zino nga Uganda eri mu kibinja D ne; New Zealand,Trindad and Tobago ne Singapore gy’eggulawo nayo.Omutendesi Fred Mugerwa yasabye abazannyi abaasaliddwaako obutaggwaamu maanyi basigale nga bakola ku mutindo gwabwe.

Abazannyi abali mu nkambi; Abateebi;Christine Namulumba (Prisons),Asinah Kabendela (Weyonje),Mercy Batamuliza, Irene Eyaru,Shadia Nassanga (KCCA).Abawuwuttanyi;Margaret Baagala ne Sarah Nakiyunga (NIC), Norah Lunkuse NE Annet Najjuka (KCCA),Lilian Achola (Weyonje) ne Joyce Nakibuule (Prisons).

Abazibizi; Shakira Nassaka ne Faridah Kadondi (Weyonje),Hanisha Muhameed Nakate,Christine Nakitto ne Shaffie Nalwanja (KCCA),Privas Kayeny (NIC),Stella Nanfuka (Prisons)

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *