West Ham ne Fiorentina battunka leero.

0

Leero mu fayinolo ya Europa Conference;

Leero omutendesi wa West Ham David lw’ayagala okweggyako ekikwa ky’ebbula ly’ebikopo. Mu bulamu alina ebikopo 2 ekya Football League Second Division mu 1999/2000 ne Preston ne Community Shield (2013 ne ManU).

West Ham ettunks ne Fiorentina ku fayinolo ya Europa Conference.Fiorentina ye ttiimu ya Yitale eyookusatu ku zaatuuse ku fayinolo y’empaka za Bulaaya.Roma yakubiddwa Sevilla ku ya Europa ate Inter Milan ezanya Man City ku ya Champions League ku Lwomukaaga.

Mu nsiike eno,omuwuwutanyi Dwclan Rice ayagala buwanguzi asiibule West Ham n’essanyu.Man City ,Arsenal ne Chelsea zimwagala wabula ttiimu z’e Yitale zibasumbuwa.

Fiorentina ewangudde emipiira 6 gy’esembye okuzannya mu mpaka zino wabweru wa Yitale.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *