Buddu ekubye Villa mu gw’okwegezaamu .

0

Buddu ekubye Sc Villa 1-0 mu mupiira gw’omukwano n’ewera okukola ekintu kye kimu ng’ettunka ne Busiro ku fayinolo y’empaka z’amasaza wikendi eno.

Buddu yakuttunka ne Busiro mu kisaawe e Wankulukuku ku Lwokumukaaga akawungeezi ku fayinolo y’omupiira gw’amasaza.

Omupiira guno gwe guwaliriza Buddu okuzannyamu omupiira gw’omukwano ne SC Villa mu maka gaayo(ag’e Wankulukuku) olwa leero ku makya era gugenze okuggwa nga batabani ba pookino aba Buddu baguwangulidde ku ggoolo emu eteebeddwa omuzibizi,Anold Odongo.

Tuli basanyufu olw’obuwanguzi bwe tufunye kubanga butuwadde amaanyi agagenda okutuyamba okuwangula  Busiro ku fayinolo y’amasaza ku lw’omukaaga”,bwatyo maneja wa ttiimu eno,Quraishi Kayiza ,bwategeezeza.

Mungeri y’emu,Busiro eky’agenda mu maaso n’okutendekebwa ku kisaawe kye ssaza e Ssentema nga yeetegekera Buddu era nabo bazanyeemu omupiira gw’omukwano ne Buddo S.S ku Mande akawungeezi.

Wadde nga bakubiddwa 2-1,kyokka maneja waayo,Thomas  Moore mugumu nti bakuwangula fayinolo kubanga omupiira guno gwabayambye okuzuula ensobi zaabwe weziri kibayambe okwenganga Buddu..

Buddu ye Nantameddwa w’empaka zino owa sizoni ewedde bwe yakubye Buweekula ggoolo 2-0 mu kisaawe kya St.Mary’s Kitende. Era abawagizi baayo basuubizza okuddamu okukola ekintu kye kimu sizoni eno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *