Uganda Cranes yetegekera Eastern Region.

0

Omutendesi wa ttiimu yéggwanga eyómupiira ogwébigere eya Uganda Cranes, Milutin Micho Sredojevic, alangiridde ttiimu y’abazannyi 32 okwetegekera omupiira ogwómukwano gw’egenda okuzannya ne ttiimu eyawamu eya Eastern Region mu nteekateeka eya Uganda Cranes Regional Tour

FUFA yatandikawo enteekateeka ya Uganda Cranes Regional Tour nékigendererwa kyókusembereza bannayuganda ttiimu yabwe nókuzuula ebitone.

Ku mulundi guno omupiira guno gugenderedwamu okwongera okuteekateeka Uganda Cranes okwetegekera okuzannya ne Algeria mu mpaka zókusunsulamu amawanga aganaakiika mu mpaka za AFCON 2023.

Uganda Cranes mu kusunsulamu kuno egenda kuzannya ne Algeria nga 18 omwezi ogujja ogwa June.

Uganda omupiira guno egenda kugukyaliza mu ggwanga lya Cameroon, olwa Uganda obutabeera na kisaawe kituukana nómutindo.

Omupiira gwa Uganda Cranes ne Eastern Region gugenda kubeerawo nga 30 May, ku ssomero lya Irundu Primary School mu district ye Buyende.

Abazannyi 32 abayitiddwa bagenda kukungaana ku bbalaza nga 29 May mu Cranes Paradise Hotel e Kisaasi.

Abazannyi bano kuliko Kavuma Marvin owa club ya NEC, Mato Rogers owa KCCA, Saidi Mayanja owa KCCA, Milton Kariisa owa Vipers, Keneth Ssemakula owa Villa Jogo, Kimbowa Shariph owa Wakiso Giants nabalala.

Mungeri yeemu nómutendesi wa ttiimu ya Eastern Region, Hassan Zungu, alangiridde ttiimu yabazannyi 21 okwetegekera omupiira guno.

Mu mpaka zókusunsulamu abanaakiika mu AFCON 2023 mu Ivory Coast, Uganda Cranes eri mu kibinja F nóbubonero 4 mu kifo ekyókusatu, Algeria ekulembedde nóbubonero 12, Tanzania yakubiri nóbubonero 4 ate nga Niger esembye nóbubonero 2.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *