Omutendesi wa She Cranes yennyamidde olw’abasambi be obutalabikako.

0

Ttiimu y’eggwanga eyomuzannyo gw’okubaka eya She Cranes ekyagenda mu maaso n’okutendekebwa nga yeetegekera empaka zensi yonna eza Netball World cup ez’okubeera mu Cape Town ekya South Africa.

Omuwendo gw’abazannyi abali mukutendekebwa gwali gwakendeera olw’ensonga nti kiraabu ssatu okuli NIC, Prisons ne Makindye Weyonje zaali zaatwala abazannyi baazo okwetaba mu mpaka za kiraabu empanguzi mu buvanjuba bwa Africa eza East Africa Netball Club Championships ezaakomekkerezeddwa ku lwomukaaga oluwedde mu Nairobi ekya Kenya.

Oluvanyuma lw’empaka ezo okugwa , abazannyi bonna babadde basuubirwa okuba nga bazze dda ku ttiimu y’eggwanga okuddamu okutendekebwa.

Webutuukidde leero nga kubazannyi 27 abazannyira awaka abaayitwa, 16 bokka bebalabiseeko mukutendekebwa kwa leero ekije omutendesi wa She Cranes Fred Mugerwa mumbeera.

Ono ategeezezza nti kubazannyi ba NIC tewali noomu yalabiseeko mukutendekebwa nga ate abalala basatu okuli Asina Kabendera, Lilian Achola ne Christine Nakitto bali mu bibuuzo.

“Tusuubira okusala kumuwendo gwabazannyi abali mukutendekebwa ku nkomerero y’omwezi guno nga era lwetusuubira nti tujja kuba tuyingidde enkambi eyokusalayo. Ndowooza wetunaasula wajja kubeera kumpi n’ekisaawe okusobola obutakooya nnyo bazannyi nga bajja mukutendekebwa, “ Mugerwa bwe yategezeza

Empaka z’ensi yonna eza Netball World cup zitandika nga 28 July- 06 August mu cape Town ekya South Africa.

Mu mpaka zino Uganda eri mukibinja ekyokuna(D) omuli New Zealand, Singapore ne Trinidad and Tobago.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *