Liigi ya Handball etandikidde mu manyi.

0

UPDF Players battles for the ball from Makerere Bulls player with the ball (C) during their League game at Police Children school on Saturday. Makerere won 20-19. PHOTO BY JOHNSON WERE

Yunivasite ya Makerere ne Kyambogo zitandise bubi sizoni empya eya Handball bwe zikubiddwa ensiike bbiri buli emu ezisoose nga sizoni empya eggyibwako akawuuwo.

Liigi ya Handball yaggyibwako akawuuwo wiikendi ewedde nga Prisons abakazi bakuba Nkajja (31-19), Prisons abasajja ne bakuba UPDF (33-30) ate Police abakazi ne bakuba Kawanda (41-30), ne Police abasajja nga bakuba UPDF (37-31).

Eno wiikendi ku kisaawe kya Kibuli Primary School, ttiimu za yunivate zonna ettaano eziri mu liigi eno okuli; Kyambogo, Makerere, Ndejje ne Victoria University bwe zitandise sizoni yaazo 2023. Wabula mu bakazi Kyambogo abaakesogga liigi eno sizoni esooka, baakubiddwa Ndejje (44-11) ne UPDF n’edda mu biwundu (48-11). Ate Makerere nayo yatadise bubi bwe yakubiddwa Kyengeza (46-28) ne Victoria University (32-18).

Mu balala Police abalina ekikopo kya sizoni ewedde oluvannyuma lw’okuwangula ensiike eyasooka wiikendi ewedde nga bakuba Kawanda (41-30), eno wiikendi baafunye wiini eyookubiri ey’omuddiring’anwa bwe baamezze Nkajja (37-22).

Victoria University oluvannyuma lw’okuwangula Makerere (32-18) mu nsiike eyagguddewo sizoni yaabwe baaseeredde mu nsiike eyookubiri bwe baakubiddwa Ndejje (35-29).

Mu basajja Ndejje University abalina ekikopo kya sizoni ewedde baatandise bulungi sizoni eno bwe baawangudde Makerere (32-31) mu nsiike eyabadde ey’akaasa mmeeme nga buli ttiimu enyiga ginnaayo ebitoliro.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *