Kitende yeddizza ekikopo ky’eggwanga lyonna .

0

Mary’s SS Kitende erya Dr. Lawrence Mulindwa lyeyongedde okukajjala mu mupiira bwe lyeddizza ekikopo ky’eggwanga lyonna.

Lyakubye St. Henry’s College Kitovu ery’e Masaka (1-0) ku fayinolo eyanyumidde e Nyakasura mu Fort Portal. Kitende era yawezezza ebikopo 11 n’etuuka likodi ya Kibuli SS.

Kitende ne Kitovu ge gajja okukiikirira Uganda mu mpaka z’amasomero ez’ensi yonna e China ate gaakwegattibwako Royal Giants Mityana ne Amus College ery’e Bukedea, agaakubiddwa ku semi ne kyampiyoni Kibuli mu gya East Africa.

RCC wa Fort Portal, Catherine Hellen Bamwine ye yabadde omugenyi omukulu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *