Pulezidenti w’ekibiina ekitwala omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga ekya Uganda Netball Federation, Sarah Babirye Kityo ayimbuddwa ku kakalu ka kkooti. Babirye, wamu ne Zainabu Namutebi baasibiddwa ku Mmande nga kigambibwa nti baggya obukadde 18 ku Sarah Wamala ne Gloria Kikomeko nga bakozesa olukujjukujju. Omulamuzi Seyna Owomugisha ye yabayimbudde eggulo ku kkooti ya Buganda Road.

Abavunaana Babirye bagamba nti yabaggyako obukadde 8 buli omu ng’abasuubiza okubatwala ne She Cranes mu America. Oludda lwa Babirye Kityo lwakuliddwa munnanateeka we, Blaire Atwebembeire eyasabye Omulamuzi okuwa Kityo akakalu awozesebwe ng’ava wabweru. Daniel Kisekka Ntale eyazannyirako SC Villa ng’era ye muganzi wa Babirye ne Dorothy Nalwadda be beeyimiridde Babirye.

Abawawaabirwa baayimbuddwaku kakalu ka kkooti ka kakadde kamu ez’obuliwo buli omu olwo ababeeyimiridde ne basabibwa obukadde 4 ezitaabadde za buliwo.

Ntale eyeeyanjulidde Omulamuzi nga muganzi wa Babirye yasiimye ebyasaliddwaawo bwe yagambye nti, “Ndi musanyufu n’ebisaliddwaawo omulamuzi, tukimanyi

abavunaana Babirye baliiko ababali emabega wabula tetutidde,

lwe twasooka okujja mu kkooti waliwo ekibinja eky’abantu abasoba mu 10 abaategeeza nga bwe bamubanja ssente kyokka kkooti eraze nti bali babiri bokka!”

Yagasseeko nti, “Bonna abali emabega wa bino Babirye bamulanga lwakuba yajja kukyusa muzannyo guno n’okwanika abalya ssente z’omuwi w’omusolo.” Omulamuzi era yalabuddeoludda oluwaabi okukomya effujjo nga beekalakaasiza ku kkooti kye

yagambye nti kimenya mateeka. Kyaddiridde abamu ku balumiriza Babirye okwekalakasiza ku kkooti nga bamusaba abawe ssente zaabwe n’okumulangira nti kimugwanidde okusula e Luzira. Babirye, yasooka kuleetebwa mu kkooti nga May 15, n’asindikibwa e Luzira gy’amaze ennaku bbiri

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *