Abaddigi besuunga za laawundi yaakuna ku kalenda y’eggwanga.

0

Oluvannyuma lw’omwezi gumu nga abavuzi ba ddigi mu ggwanga batudde waka, FMU ekibiina ekitwala omuzannyo guno kibaggyeeko ekiwubaalo bwe batongozza eza laawundi eyookuna ku kalenda y’omwaka guno (Mountain Dew Motocross Championship).

Kalenda y’eggwanga ebadde yakoma okuvugibwa nga April 10, mu mpaka za ‘FIM Central Africa Motocross Championship 2023’ ezaakulungula ennaku bbiri nga ziyiribira ku kisaawe kya Extreme Adventure Park e Busiika, abavuzi bwe baali balwanira obubonero ku kalenda y’eggwanga n’ey’obuvanjuba bwa Afrika.

Okukomawo kw’empaka ku kalenda y’eggwanga kuwadde abavuzi ebbugumu wakati nga buli omu ayagala kulinnyisa bubonero bw’alina mu mitendera egy’enjawulo mwe bavuganyiza ku ngule z’eggwanga ez’enjawulo.

Eza laawundi eyookuna zaatongozeddwa eggulo ku Lwokubiri ku woteeri ya Fig Tree e Kansanga, zaakuvugibwa nga May 28, 2023 ku kisaawe kya Kyakaigo mu kibuga Fort Portal.

Okusinziira ku Kisitu Mayanja omumyuka wa pulezidenti wa FMU avunaanyizibwa ku muzannyo gwa ddigi mu kutongoza empaka zino yategeezezza nga bwe bagenda okuzikozesa okusunsulamu abavuzi abanaakiikirira Uganda mu za Afrika n’ensi yonna ezisuubirwa mu bbanga lya myezi ebiri okuva kati.

Tusigazza ennaku 11 okutuuka mu lunaku mulindwa olw’empaka zino, tusuubira abavuzi bannayuganda 80, bannakenya basatu n’abalala okuva e South Africa,” Kisitu bwe yategeezezza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *