Owa Express asiimye abawagizi baabwe.

0

James Odoch omutendesi wa Express yeebazizza abawagizi ba ttiimu eno abatindizze olugendo lwa kkirommita 429.1 okuva e Kampala okugenda mu Arua okuwagira ttiimu yaabwe nga bakubwa Arua Hill 4-1 mu liigi ya babinywera eggulo ku Lwokusatu. 

Odoch yagambye nti abawagizi bano bayolesezza obuvumu obw’amaanyi  obwawadde abazannyi okwekkiririzaamu wadde tebaasobodde kuwangula mupiira gwe baabadde beetaaga. 

Express yayingidde ensiike eno ng’eyagala buwanguzi bwokka so nga ne Arua Hill gye baalumbye eriko obusungu bw’okukola amaliri ne Onduparaka wiiki ewedde era ekiruyi kyonna yakimalidde ku Express bwe yagikomeredde ggoolo 4-1. 

Bukya Arua Hill ejja mu liigi tekubwangako Express mipiira ena gye babadde baakazannya era obuwanguzi buno bwatadde Arua Hill mu kifo eky’okuna ku bubonero 37 so nga yo Express yasigadde mu kya 10 n’obubonero 30 mu mupiira 24. 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *