FUFA ekalize baddiifiri 2 n’abazannyi 6 lwa kwenyigira mu kutunda emipiira.

0

Ekibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga ekya FUFA nga kiyita mu kakiiko ka FUFA Anti Match Fixing Campaign kakalize abazannyi bana ne baddiifiri babiri lwa kwenyigira mu kugulira emipiira saako n’okuzannya zzaala ekintu ekikontana n’amateeka g’omupiira. 

Abazannyi abakaligiddwa kuliko; Andrew Waiswa (Gaddafi FC), Yaya Mahad Kakooza (Gaddafi FC), Godfrey Lwesibawa (Kitara FC), Saleh Maganda (Calvary FC), Franco Oringa (Northern Gateway FC) ne Abdallah Mwima (Ndejje FC University) ate baddiifiri kuliko; Deogracious Opio (Referee), George Nkurunziza (Referee). 

Okusalawo kuno kuzze oluvannyuma lw’akakiiko akakwasa empisa aka FUFA Ethics and Disciplinary Committee okukola okunoonyereza ne kasalawo okubasa ebbali nga tebeenyigira mu mupiira gwonna mu ggwanga. 

Abazannyi bano ne baddiifiri bakaligiddwa okumala ennaku 90 gy’emyezi esatu nga tebeenyigira mu muzannyo gwonna ogw’omupiira. 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *