Shadir  yeepikira musipi gwa East Africa mubikonde.

0

NGA yaakamala okusitukira mu musipi gw’eggwanga ogwa National Middleweight title, Omuggunzi w’enguumi Shadir Musa Bwogi alangiridde bw’akomawo mu miguwa mw’agenda okulwanira omusipi gwa ABU East And Central Africa omwezi ogujjagya.

Shadir eyaliko kapiteeni wa ttiimu y’eggwanga ey’ebikonde ‘The Bombers’ waakuttunka n’Omutanzania Juma Misumali gwe yeEweredde okuwa essomo lyalinyumizaako n’abeewaabwe.

pics=2&tps=2&ref=https%3A%2F%2Fwww.bukedde.co.ug%2Fcategory%2F3&fc=384&brdim=0%2C0%2C0%2C0%2C1024%2C0%2C1024%2C728%2C1024%2C600&vis=1&rsz=%7C%7Cs%7C&abl=NS&fu=128&bc=31&ifi=14&uci=a!e&btvi=1&fsb=1&xpc=FHtskbqizk&p=https%3A//www.bukedde.co.ug&dtd=13 Yasangiddwa mu kutendekebwa kaasammeeme ku Tirap Gym esangibwa ku Wilson Road mu Kampala.

Olulwana we lujjdde mu kiseera nga yaakamala okuwumiza Omupoliisi Ivan Magumba gwe yakubye tonziriranga mu lawundi esooka n’amuleeka ng’aboologera mu miguwa.

Obuwanguzi buno bwamuyambye okusitukira mu musipi gw’eggwanga ogwa National Middleweight title. Luno lugenda kuba lulwana lwe lwakuna mu bikonde ebya pulofeesono bukya atandika kubizannya mu April wa 2021.

Essatu ezisembye zonna aziwangudde mw’akubidde Herbert Mugarura, Henry Kasujja ‘Stopper’ kw’ossa Magumba.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *