Ttiimu ya Kyaddondo egobeddwa mu Liigi ya  FUFA eyo mulundi ogw’okunna .

0

Ttiimu ya Kyaddondo Eagles ebadde esamba mu Liigi ya 4th Division Wakiso District FUFA egobeddwa mu Liigi eno lwa kulemererwa kutuukiriza bisaanyizo ebyetaagisa.

Kyaddondo Eagles ye yawangula liigi ya 4th Division mu disitulikiti y’e Wakiso omwaka oguwedde era yaviirako ku Zonal Liigi n’eremererwa okuyingira Buganda Regional League.

Haruna Kyobe akulirawa Liigi ya 4th Division Wakiso District mu kiwandiiko kye yafulumiza yagambye nti Kyaddondo Eagles yamenye amateeka bwe yasussizza emipiira egisoba mu 3 nga tesamba ate nga abakulira ttiimu eno tebawaayo nsonga yonna lwaki tebakyasamba mupiira.

Mukisa Patrick Nkuggwa, sipiika wa Kasangati Town council ye nnannyini ttiimu omusasi waffe yagezezzaako okumutuukirira ku ssimu  okubaako ky’atangaaza nga takwata. 

Abamu ku basambi mu ttiimu eno be twayogedde nabo okuli; Hassan Mubiru era nga y’abadde akulembedde abateebi yategeezezza nti bo nga abasambi babadde basazeewo basambe bamaleko sizoni naye abakulira ttiimu babamazeemu amaanyi kubanga buli kiseera babadde tebakwata masimu gaabwe na kati ate nga bakyababanja ssente.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *