FIFA etandise kampeyini mukuzuula ebitone bya’baana abawala.

0

FIFA, ekibiina ekiddukanya omupiira mu nsi yonna ng’eyita mu FUFA kitandise kaweefube ow’okuzuula ebitone by’abaana abawala mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo okusobola okubagazisa omuzannyo guno. 

Violet Jubane, omukungu wa FIFA, ye yabadde omugenyi omukulu mu kutongoza kampeyini eno e Yumbe ku kisaawe kya Booma Ground nga yamaze ennaku ssatu ng’eyinda mu bitundu eby’enjawulo. 

Jubane yagambye nti kampeyini eno yaakuyamba nnyo abaana abawala okusobola okutumbula ebitone byabwe kuba omupiira gukula buli kanaku mu nsi ez’enjawulo naddala ku lukalu lwa Afrika. 

“Kampeyini eno etandikidde mu Uganda wabula egenda kutambula amawanga ag’enjawulo okusobola okuzuula ebitone eby’enjawulo,” Jubane bwe yategeezezza. 

Akulira emirimu mu FUFA, Edgar Watson yeebazizza abazadde abasobodde okuleeta abaana okuyiga engeri omupiira gye guzannyibwa era bagenda kukola ekisoboka okulaba nga batumbula ebitone byabwe. 

Edgar yawerekeddwaako Agnes Mugena, Chris Kalibala, Decolas Kiiza, Margret Kubingi, Aisha Nalule, Ali Mwebe, Ade Fredrick Isaac, Jackson Nyiima ne Bridget Nabisaalu. 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *