Kwemoi awangudde embiro za Milan Marathon.

0

Munnayuganda omuddusi w’embiro z’okwetooloola ebyalo, Andrew Kwemoi Rotich awangudde empaka embiro za Milan Marathon ezaabadde mu kibuga Milan ekya Yitale ku Ssande.

Emisinde gino egya kiromita 42, Kwemoi yagiddukidde essaawa 2:07:14. Timothy Kipkorir enzaalwa ya Kenya yamalidde mu kyakubiri nga yaziddukidde essaawa 2:07:53 nga John Hazikimana enzaalwa ya Rwanda, yamalidde mu kyakusatu ku ssaawa 2:08:18. Munnayuganda omulala Kibet Soyekwo yamalidde mu kyamunaana ku ssaawa 2:10:58.

Omutendera gw’abakayala agwawanguddwa Munnakenya Sharon Cherop Jemutai oluvannyuma lw’okuddukira essaawa 2:26:13 nga Munnayuganda Immaculate Chemutai yamalidde mu kyakutaano mu ssaawa 02:29:26.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *