KCCA ne POSTA basiisinkanye mu liigi y’okubaka.

0

KCCA nga ye kiraabu yokka etannakubwamu mu liigi  sizoni eno egenda kuba ettunka ne POSTA  mu kaweefube gwe baliko okuwangula ekikopo kyabwe ekya liigi ekisooka kwossa n’okumalako liigi nga tebakubiddwaamu.

Omutendesi wa KCCA Fred Mugerwa ayungudde ttiimu ye yonna kabiriiti ng’ono ategeezezza nti talina kiraabu yonna gy’anyooma olw’ensonga nti zonna  zikola okutendekebwa era nga zirina obusobozi okuwangula.

” Buli mupiira tugutwala nga mukulu awatali kunyooma. Tewali kiba kindesaayo bazannyi nga ate twetaaga ggoolo eziwera. Mmanyi tuyinza okutuuka ekiseera nga ggoolo ze tuteebye zituyamba okuwangula ekikopo,” Mugerwa bwe yatangazizza

Emipiira emirala egizannyibwa kuliko;  Africa Renwal University etunka ne Prisons,  UCU ne Posta nga oluvanyuma UCU yaakuzanya ne UPDF.

KCCA ekulembedde liigi n’obubonero 30 nga sizoni eno erwana kuwangula kikopo kyayo ekisookedde ddala mu byafaayo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *