Empaka za Lubowa Cup ez’okubaka zeyongeddemu ebbugumu.

0

Photo credit-Bukedde

Empaka za Lubowa Ssebina Easter cup eziyindira mu kibuga Masaka ez’okubaka zeeyongeddemu ebbugumu nga ttiimu mukaaga ze ziyiseewo okuzannya omutendera gwa Quarter finals. 

Ekirindiriddwa lwe luzannya olw’ekibinja ekisembayo nga ku ttiimu okuli Bugabira,Katwe,Butego, Kitengeesa B ne Matanga A kwe kugenda okuva ttiimu ebbiri zeegatte ku ezo omukaaga ezaayiseewo ng’okubaka kugenda kubeera ku kisaawe e Bugabira.

Ezimu ku ttiimu eziyiseewo kuliko Kitengeesa A,Bulando, Ssennyange, Nnyendo A,Samaliya B ne Matanga ng’awamu zaali ttiimu 20 okuva mu miruka 14 egikola Nyendo Mukungwe Divizoni.

Ssenkulu wa Lubowa Ssebina Foundation era nga ye muvujjirizi omukulu ow’empaka zino omwami Lubowa Ssebina Gyaviira agambye nti kati ebiruubirirwa by’empaka zino birabwako nti kuba zongedde okuvumbula ebitone mu baana ab’obuwala mu division ya Nnyendo Mukungwe. Ono era asabye bannabyamizannyo okwewala okwenyigira mu mize gy’obugwenyufu ekiyinza okubaviirako okufiirwa ebitone byaabwe.

Omwogezi w’essaza Buddu Muhammad Musa Matovu Kigongo agambye nti ng’essaza ba kubakwasizaako okutumbula omuzannyo gw’okubaka okulaba ng’essaza lifuna ttimu eggumidde

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *