Aba ddigi bessunga mpaka za ‘East and Central African motocross championship’.

0

Omutindo gwa Uganda gw’eze eyolesa mu mpaka za ddigi ez’omu buvabajubwa n’amassekkati ga Afrika (East and Central African motocross championship), gusikirizza Bannakenya babiri okusaba layisensi za wano okuvuganyiza ku kalenda y’eggwanga mu muzannyo guno.

Masalule Kituyi ne Rohan Gandhi ababadde bavuganyiza mu mutendera gwa MX2 e Kenya be beegasse ku ttiimu Uganda era bano ekibiina ekitwala omuzannyo guno mu Kenya kyabasiibuudde nga kati empaka zonna ze beetabamu bavuganyiza ku layisensi ya Uganda.

Kiddiridde bannayuganda okumegga ennyo bannakenya n’Abatanzania okumala sizoni ennya (4) ez’omuddiring’anwa n’endala mu myaka ez’emabega mu mitendera egy’enjawulo okuli; MX 50, MX 65, MX 85, MX 125, MX1, MX2 n’endala.

Bano kati beegasse ku Wazir Ali Omar, Fortune Ssentamu, Alestair Blick, Kylan Wekesa n’abalala abeegulidde erinnya mu MX 2 emyaka egizze giddiring’ana mu ggwanga.

Amawulire gano gonna gaalangiriddwa ku mukolo gw’okutongoza empaka eziggulawo kalenda y’eza ‘East and Central Africa motocross championship’ ezigenda okuvugibwa ku wiikendi ya ppaasika ku kisaawe kya Extreme and Adventure Park e Busiika.

“Uganda kati eri ku ddaala lya njawulo mu muzannyo guno era twegattiddwaako bannakenya babiri abagenda okutandika okuvuganyiza ku layisensi ya wano, nsaba abavuzi twongeremu amaanyi n’okukuuma empisa,” Kisitu Mayanja amyuka pulezidenti wa FMU ku nsonga z’omuzannyo gwa ddigi bwe yakakasizza.

Eza ‘East and Central Africa motocross championship’ zaatongozeddwa ku Lwokusatu ku Ofiisi za Moil e Banda.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *