Minisitule y’abakozi ba gavumenti yetanidde omuzannyo gwa woodball.

0

Ensangi zino ebitongole bya gavumenti byetanidde nnyo ebyemizannyo nga omu ku kaweefube w’okulwanyisa ebirwadde ebiva ku kunafuwa kw’omubiri omuli sukaali ne puleesa.

Ebimu ku bitongole ebyetanidde ennyo eby’emizannyo kuliko minisutule ya Public Service nga bano bafuuse mmo mukuzannya omuzannyo gwa Woodball.

Ekitone kya bano kyeyolese nnyo   bwe babadde beetabye mu mpaka za Women’s Day Women Championships ez’omulundi ogw’okutaano  ezaabadde  ku ssomero lya Lubiri  Nnaabagereka Primary School.

  Ministry ya  Public Service yeefuze empaka zino oluvannyuma lw’okuwangula omutendera gw’ebitongole n’ogwabakafulu.

Okuwangula omutendera gwa bakafulu ministry of Public Services ekung’aanyiza obubonero 444 okuyita mu bazannyi Jackie Naula , Joyce Nalubega ne  Sophie Namuddu.

Mubs yakutte kyakubiri n’obubonero 513 nga Makerere University emalidde mu kyakusatu n’obubonero 590.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *