Lwaki  fayinolo ye mpaka za masaza bagitutte wankulukuku?

0

Kulw’omukaaga, 4 th /03/2023

. busiro vs buddu – muteesa ii memorial e wankulukuku

Ebisalee

20,000 (ababulijjo), 50,000 (abanene), tiketi z’akumulyango

Oluzannya oluggalawo empaka za masaza ga Buganda lwakubeerayo nga 4, omwezi ogw’okusatu 2023,

ku kisaawe kya muteesa II royal stadium e wankulukuku. Fauinolo yakubeerako essaza erya busiro wamu

n’erya buddu.

Buddu beba nantamegwa b’ekikopo kino nga omwaka sizoni eyaggwa, bawangula buweekula ku goolo

2-0 era nga bano bakawangula ekikopo kino emiirundi ebiri miramba nga ogwasooka gwaliwo mu 2016,

ne mu 2021. Guno mulundi gwa mukaaga nga buddu etuuka ku luzannya olwakamalirizo olw’empaka

zino.

Lyo essaza lya busiro ligenda kuzannya fayinolo yalyo ey’okubiri nga eyasooka yaliwo mu mwaka gwa

2019, era nga bawangulwa bulemeezi ku goolo 1-0. Kino kitegeeza nti busiro enonya ekikopo kyayo

ekinaasokera ddala.

Akakiiko akateekateeka empaka za masaza akakulemberwa hajji sulaiman ssejjengo ku lwokusatu nga 15

omwezi ogwokubiri, kaalondode ekisaawe kye wankulukuku era nekakakasa nti ekisaawe kiri mu

mbeera nnungi era kijja kusobola okukyaza empaka zino. Ekisaawe kino era kyekijja okukyaza empaka

z’ebika bya baganda wakati we ndiga n’olugave nga 11 ogw’okusaatu, 2023.

Omuwanguzi mu ,mpaka za masaza ga Buganda wakubuukawo n’obukadde kumi n’abubiri (12,000,000)

ate nga ow’okubiri wakwetwalira obukadde mwenda (9,000,000).

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *