Bamusaayimuto besuunga mpaka za lacrosse.

0

Omutendesi wa akademi ya Vikings Lacrosse, Faizal Nsubuga musanyufu nti abazannyi b’omuzannyo guno abato bafiiriddwaako ne baweebwa omukisa okuzannya mu mpaka ezitegekebwa okwolesa ebitone.

Yabadde aduumidde ttiimu ye ey’abalenzi abali wansi w’emyaka 16 okwetaba mu mpaka ezaategekeddwa ekibiina kya Peace Lacrosse the Wolrd Campaign ku kisaawe kya Bishop SS e Mukono.

“Ndi musanyufu nti kati omuzannyo gutambuziddwa mu baana abato naddala abalenzi era kibawadde omukisa gw’okwolesa ttalanta zaabwe,” Nsubuga yagambye.

Yayongeddeko nti mu bawala, omuzannyo guno gwetaaga okwongeramu maanyi kuba nabo beetaaga okusitula ttalanta zaabwe.

“Tusaba ekibiina kya Uganda Lacrosse Association (ULA) okwongera amaanyi mu kumanyisa abawala omuzannyo gwa Lacrosse kibasobozese okugukugukamu kituyambe okufuna ttiimu ennungi nga tugenda mu mpaka z’ensi yonna omwaka ogujja,” Nsubuga bw’agamba.

Emizanyo gino gyabaddemu akademi okuli; Golden Rocks okuva e Mbuya, Honets ey’e Kibuli, Big Dogs e Jinja ne Vikings ey’e Mukono. Clinton Matumbe omu ku bategesi b’empaka zino yagambye nti zaakubeerangawo mu buli luwummula okuwa abazannyi omukisa okuzannya lacrosse.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *