Aba lacrosse beevumye  ebbula ly’ensimbi eriremesezza emirimu.

0

Ekibiina kya ekitwala omuzannyo gwa lacrosse ekya Uganda Lacrosse Association kye kimu ku bibiina ebyamazeeko omwaka 2022 nga bigwevuma olw’okulemwa okutuukiriza ebiruubirira byakyo.

Omuzannyo guno ogwakamala emyaka 12 mu Uganda, gwalemeddwa okutwala ttiimu y’abakazi mu mpaka z’ensi yonna ezaabadde mu kibuga Maryland ekya Amerika.

Ttiimu y’abakazi eno yalina okugenderamu abazannyi 23 kyokka yammibwa viza okugenda mu Amerika, ekintu kye bagamba nti kyabakosa nnyo nga ekibiina 

Wabula abakulira omuzannyo guno bagamba nti nga bamaze okubamma viza, baatandika kaweefube w’okutwala tiimu y’abalenzi ento eya U-21 mu Ireland mu August, era wadde teyawangulayo muzannyo na gumu, omutindo gwe baayolesa gwalaga ebiseera bya Uganda ebitangaavu mu muzannyo gunno.

Abazannyi nga George Ogik, yafuna sikaala ku Westcliff University, gy’asomera olw’omutindo ogw’enjawulo gwe yateekawo mu mpaka ezaali mu Ireland.

Wabula omwaka bwe gwabadde guggwaako, ttiimu y’abasajja enkulu yagenze mu ggwanga lya Kenya okwetaba mu z’okusunsulamu abaneetaba mu z’ensi yonna ezinaabeera mu kibuga San Diego ekya Amerika omwaka guno.

Amaanyi ga Uganda okukuba Kenya kyalaga obumanyirivu eggwanga bwe lirina mu muzannyo.

Leonard Lubambula, ssaabawandiisi w’ekibiina ekitwala lacrosse mu Uganda, agamba nti balina essuubi nti omwaka guno gugenda kuba munyuvu nga beetegeka okwetaba mu mpaka z’ensi yonna.

“Okwetaba mu mpaka z’ensi yonna ez’okuyindira mu Amerika kijja kuzzaamu abazannyi ba Uganda amaanyi,” Lubambula bw’agamba.

Wadde ebbula ly’ensimbi mu mizannyo lyeyongera buli olukya, bano era baluubirira okwongera okufuna obuvujjirizi.

“Tugenda kwongera okutta emikago n’amawanga amangi nga tufuna obuvujjirizi abasobola okutuyamba mu mbeera az’enjawulo,” Lubambula bw’ayongerako.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *