Liigi y’okubaka eddamu ku Lwamukaaga lwa wiiki enno.

0

Liigi y’okubaka eddamu ku Lwamukaaga lwa wiiki enno.Akakiiko akategeka liigi y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okubaka eya Uganda Netball Super League kyaddaaki kalangiridde nga liigi y’okubaka bw’egenda okuddamu okuzannyibwa nga ennaku 11 February oluvanyuma lw’okuyimirizibwa  ku nkomerero y’omwezi oguwedde  ogwa  January.

Micheal Kakande nga yakulirira akakiiko akategeka liigi ategezeza nti ebbula ly’ensimbi byebimu kubyali biviriddeko liigi eno okuyimirira .

Wabula ono avuddeyo n’ategeeza nga kati bamaze okuwandiikira kiraaabu zonna ze babanja okulaba nga zimalayo ssente okusobozesa liigi okuddamu.

“Kiraabu ssatu zokka ze zaamalayo ssente nga endala tezinnaba . Wadde bulijjo tubadde tubajjukizanga okusasula wabula babaddenga tebawuliriza  nga na bwe kityo kye twavudde tusooka tuyimiriza liigi okuwa kiraabu obudde okwetereeza mu by’ensasula,” Kakande bwe yategeezeza.

Ono era yayongeddeko nti ssente kiraabu ze zisasula zibadde zikozesebwa mu kusasula baddiifiri kwossa n’ebifo awazannyirwa emipiira naddala Kamwokya nga na bwekityo babadde tebayinza kweyongerayo na mabanja paka nga bafunye ssente.

Wonna awamu kiraabu 11 kati ze zivuganya mu liigi eno oluvannyuma lwa UgX Luwero okuvaamu  nga Prisons ekulembedde  n’obubonero 24 bwe yenkanya ne KCCA abali mu kyokubiri.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *