Oluvanyuma lwa wiiki emu nga lawundi eyokubiri eya liigi yokubbaka  eya Uganda Netball Super League kyejje eddemu, akakiiko akadukanya liigi y’eggwanga aka Planning and Organizing committee kavuddeyo nekalangirira nga liigi ate bweyimiriziddwa ebbanga eritali ggere.

Ekiwandiiko kye batadde ku yintaneti, akakiiko kabadde tewa nsonga nambulukufu ku ki ekiyimiriza liigi wabula nga bategezeza nti waliwo ensonga ezibadde zitebereka nga kwebasinzidde okuyimiriza liigi.

Ekiwandiiko Ekiyimiriza Liigi

Micheal Kakande nga yaakulirira akakiiko akategeka liigi ategeezezza nga bwe bayimirizza liigi okusobola okuddamu okwetegereza ensonga ezibadde zeemulugunyizibwako bamaneja ba kiraabu .

Ono ayongeddeko nti baakutuula mu lukiiko ku Mmande ya wiiki ejja okusobola okugonjoola obutakkaanya buno  wamu n’okukanya ku nsonga ezimu ezeekuusa ku kuddukanya liigi.    

Micheal Kakande Akulira Akakiiko Akategeka Liigi Mulukiiko Lwakakiiko Nga Awuliriza Ebiteeso Bya Ba Memba Abatuula Ku Kakiiko

Wonna awamu emipiira mwenda gye gibadde gyakazannyibwa nga liigi esuubirwa okuddamu ku Lwomukaaga lwa wiiki  ejja. 

Liigi weetuukidde okuyimirizibwa nga Prisons ekulembedde n’obuboneo 24 nga ebwenkanya ne KCCA , Nic kyakusatu ate Makindye Weyonje kyakuna.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *