Aba USPA balonze ttiimu ya badminton ku buzannyi bw’omwezi.

0

Bannamawulire abasaka ag’emizannyo mu kibiina kya Uganda Sports Press Association (USPA) balonze ttiimu y’abazannyi ba badminton eyawangudde empaka za Afrika mu December omwaka oguwedde ku buzannyi bw’omwezi ogwo.

Ttiimu y’essomero lya Mbogo High ye yaziwangudde mu bawala ate Kibuli SS n’ewangula mu balenzi mu mpaka ezaayindidde wiiki nnamba mu Mauritius.

Mu lutuula lwabwe ku Imperial Royale ku Mmande, abayizi bano be baalondeddwa okutwala ekirabo kya Nile Special-USPA Award ku bululu 235 nga baddiriddwa Ndejje University eyawangudde emizannyo gya yunvasite z’Obuvanjuba bwa Afrika ez’omulundi ogw’e 12 ze baategese.

Ndejje baafunye obubonero 210 nga baddiriddwa ttiimu y’eggwanga eya ddigi eyawangudde empaka za East Africa ezaabadde e Nairobi.

Abaasiimiddwa ye ttiimu y’eggwanga eya International Taekwondo Uganda Association eyawangudde empaka za East Afrika, Cricket Cranes eyawangudde empaka za T-20 eza East Africa ne Victoria Pearls ey’abakazi era eya cricket eyawangudde eza East Africa eza T-20.

Mu lutuula luno abadde ssaabawandiisi wa USPA ku kakiiko akakadde, Johnson Were yakwasizza ssaabawandiisi omuggya, Clive Kyazze ofiisi mu butongole n’amwagaliza okuweereza obulungi.

Pulezidenti wa USPA omuggya, Al Sayed Moses Lubega yategeezezza bammemba ku mugaso gw’okufuuka bammemba mu kibiina ky’amawulire g’emizannyo eky’ensi yonna ekya AIPS.

“Aba AIPS baagala okwongera okusikiriza bannamawuulire abato okukyegattako. Baagala era okutandika okuteekawo emisomo nga bajja mu ligyoni amawanga gasobole okusoma nga geegasse,” Kyazze bwe yategeezezza.

Lubega yategeezezza bammemba we batuuse ku kutuukirira ebitongole ebivunaanyizibwa ku mizannyo mu ggwanga okuli; Palamenti, NCS ne UOC kw’ogatta n’ebibiina by’emizannyo okuli basketball, ebikonde ne cricket.

Mu kiseera kye kimu, aba rugby baasomesezza bannamawulire ebikwata ku muzannyo ogwo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *