Jinja Hippos ekiguddeko mu rugby.

0

Abawagizi ba Jinja Hippos Rugby Club kata ebifuba bibabugume oluvannyuma lw’okulabat tiimu yaabwe ng’ekubwa tiimu ya Makerere Impis (25-22) mu mupiira gwa liigi ya babinyera eya rugby ogwazanyiddwa ku kisaawe kya Dam Waters e Jinja ku Lwomukaaga.

Henry Nsekuye owa Impis ye yabadde omuzannyi w’olunaku bwe yafunidde ttiimu ye obubonero 20 okuva mu kusimula ebisobyo, Allan Kyagulanyi n’agifunira 5, ekyayambye Impis okufuna obuwanguzi ebusookedde ddala mu liigi ku Hippos okuva 2012. Obubonero bwa Hippos bwabafuniddwa Dennis Etwau, Timothy Mugisha ne Yassin Wasswa.

Jinja Hippos Rugby Club

“Twategedde nti Hippos erudde ng’ezanyira wamu ekyatuwadde amaanyi okukolera awamu nga tuzannyira wamu nga ttiimu ne tuzibira ebibangirizi mwe bandiyise,” omutendesi wa Impis, Cyrus Ssebuliba bwe yagambye.

Wabula owa Hippos, Said Atibu yategeezezza nti ttiimu ye bwe yalemeddwa okufuna akalungi mu bisobyo bye yafunye ekyagiviiriddeko okukubwa.

Wabula ne baggya ba Hippos aba Walukuba Barbarians abaakakomawo mu liigi, baakiguddeko, Kobs Rugby Club bwe yabawutudde 76-00 mu mupiira ogwabadde ku kisaawe kya Legends mu Kampala.

Bakyampiyoni ba sizoni ewedde aba Heathen baakubiddwa Pirates (24-18) ku kisaawe kya King Power e Bweyogerere.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *