Vipers etokota Karim Ndugwa owa BUL.

0

Oluvannyuma lw’akatale k’abazannyi okuggulwo nga January 1, Vipers bannatameggwa ba liigi y’eggwanga eya StarTimes Uganda Premier League batandikiddewo kaweefube w’okunyweza ttiimu yaabwe. Baperereza omuteebi wa BUL FC, Karim Ndugwa basobole okwongera amaanyi ku kyoto kyabwe. 

Endagaano ya Ndugwa mu BUL ebulako ennaku 19 zokka eggweeko nga January 25 era agava mu BUL gagamba nti bakyalemeddwa okukkaanya ku ky’okugizza obuggya. 

Sizoni ewedde, Ndugwa yateeba ggoolo musanvu mu Uganda Cup n’agiyamba okuwangula ekikopo kino. 

Ensonda zigamba nti enteeseganya wakati wa Vipers ne Ndugwa zimaze akaseera nga zigenda mu maaso era banaatera okutuuka ku nzikiriziganya. 

Vipers eyagala kuggumiza kyoto kyayo esobole okuvuganya mu mpaka za CAF Champions League mwe bagenda okuttunkira ne ttiimu okuli; Raja Casablanca (Morocco), Horoya AC (Guinea) ne Simba SC (Tanzania). 

Ndugwa yeegatta ku BUL omwaka oguwedde mu January ku ndagaano ya emwaka gumu ng’asikira Musa Esenu eyeegatta ku AS Kigali e Rwanda. Yali musaale nga BUL ekuba Vipers (3-1) ku fayinolo ya Uganda Cup. 

Ono azannyiddeko ttiimu okuli; SC Villa, URA FC, Express FC, AFC Leopards e Kenya, Wakiso Giants, Mbarara City, Horseed e Somalia, Onduparaka ne Victors. 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *