Ronald Musagala yeepikira gya World Cross-country e Australia.

0

Ronald Musagala, y’omu ku Bannayuganda 26 abagenda okukiikirira eggwanga mu misinde gy’ensi yonna egy’okutolontoka ebyalo egya World Cross Country Championship egy’okubeera mu Burthust ekya Australia nga 18 omwezi ogujja ogwa Febuary.

Musagala waakuvuganya ku mutendera gwa kkiromita bbiri. Okuyitawo okukiika mu mpaka zino yamala kuwangula mpaka za ggwanga eza National cross country championships eza kkiromita bbiri ezaali ku kisaawe kya Golf e Tororo.

Musagala kati okutendekebwa kaasammeeme akukolera  ku kisaawe kya ttendekero e Kyambogo  nga agamba akaseera we kanaatuukira ajja kuba ali mu mbeera nnungi okuteekawo okuvuganya okw’amaanyi.

Bannayuganda abalala abagenda okuvuganya mu kkirommita ebbiri kuliko Abu Mayanja, Knight Aciru ne  Linda Chebet.

Empaka z’ensi yonna ez’okutolontoka ebyalo ezikyasembyeyo zaali mu Aarhus ekya Denmark nga Uganda yazivaamu n’emidaali mukaaga nga ku gyo, ebiri gyali gya zzaabu, ebiri gya ffeeza  n’ebiri gya kikomo .

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *