Micho awawula ttiimu eneezannya ne Cameroon.

0

Omutendesi wa Cranes, Micho Sredojevic agambye nti essira agenda kulissa mu kuzibira bwe banaaba battunka ne Cameroon mu gw’omukwano ku kisaawe kya Chedly Zouiten mu Tunisia.

Leero, Cranes lw’ezannya omupiira ogwokubiri ogw’omukwano mu kaweefube w’okwetegekera empaka z’ekikopo kya CHAN ezitandika nga January 13 mu Algeria.

Ku Lwokubiri, yalemaganye ne Sudan ggoolo 2-2 eza Karim Watambala ne Ibrahim Orit nga ku Ssande baakuzannya Mali nga CHAN tannatandika.

“Cameroon ttiimu ya maanyi naye guno omupiira njagala kugezes bazibizi bange ndabe engeri bwe bakikolamu nga tetunnagenda mu CHAN. Ssinga ekisenge kibeera kigumu, amakkati n’abateebi bajja kukola bulungi. Tekikola makulu abateebi kufuna ggoolo ate ng’eno omulabe gw’azigatta,” Micho bwe yategeezezza.

Eza CHAN zaakuzannyibwa wakati wa January 13 ne February 4. Uganda eri mu kibinja B omuli; DR Congo, Senegal ne Ivory Coast.

Guno gugenda kuba mulundi gwamukaaga nga Uganda yeetabamu ng’emirundi emirala kuliko; 2011, 2014, 2016, 2018 ne 2020 wabula gyonna ebadde teva mu kibinja.

Abaazannye ogwa Sudan;

Nafian Alionzi (mu ggoolo), Ashraf Mandela, Derrick Ndahiro, Hillary Mukundane, Geoffrey Wasswa, Siraje Sentamu, Moses Waiswa, Karim Watambala, Frank Sebuufu, Milton Karisa ne Ibrahim Orit.

Ku katebe: Joel Mutakubwa, Jack Komakech, Bright Anukani, Travis Mutyaba, Nelson Senkatuka, Najib Yiga, Titus Ssematimba, Moses Aliro, Rogers Mato.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *