Bannabyamizannyo bakungubagidde eyali nakinku mu kucanga endiba munsi yonna Edson Arantes do Nascimento Pele, eyafudde mu kiro ekikesezza olwaleero.

Pele abadde atawanyizibwa obulwadde bwa cancer.

Pele afiiridde ku myaka 82 egy’obukulu era yafiiridde mu ddwaliro lya Albert Einstein Hospital mu kibuga kya Brazil ekya Sao Paulo.

Abazannyi sekinoomu, club ezenjawulo, abakulembeze b’ensi ezenjawulo nabalala bonna bawerezza obubaka obukungubagira omugenzi Pele.

Abazannyi ba Brazil bakulembeddwamu Neymer Junior kati omuzannyi wa PSG eya France, nga ayogedde ku mugenzi Pele ng’omuntu eyasitula erinnya lya Brazil okumanyika mu muzannyo gw’omupiira era nti wadde afudde, naye erinnya lye lyakusigalawo lubeerera.

Abazannyi abalala abawerezza obubaka ye Lionel Messi munnansi wa Argentina ne Cristiano Ronaldo munnansi wa Portugal abegulidde erinnya mu kucanga endiba ensangi zino.

Bogedde ku mugenzi Pele ng’abadde eky’okulabirako eri abazannyi abalala era byonna bye yakola byakujjukirwa emirembe gyonna.

Pele yatandika okugenda mu byafaayo mu 1958 bwe yawangula ekikopo kya World Cup ku myaka 17 gyokka nga Brazil ekuba Sweden, era mu mupiira ogwo yateebamu goolo 2.

Pele era ye muzannyi yekka akyawangudde ekikopo kya World Cup emirundi 3 mu 1958, 1962 ne 1970 era nga yakyasinze okuteebera Brazil goolo ennyingi 77 mu mipiira 92.

Pele yannyuka okuzannya omupiira mu 1977 mu club ya New York Cosmos,  era yaleka azannye emipiira 1363 ne goolo 1281.

Pele yazannyako Film eya ESCAPE to Victory eyalimu ne John Rambo oba Silvester Stallone eyafulumizibwa mu mwaka gwa 1981.

Film eno yali enyonyola ku ngeri abasibe abaakwatibwa mu lutalo abaali baasibwa mu kkomera lya German abamala ekiseera nga basamba omupiira, engeri gye gwabayamba okutolooka.

Mu mwaka gwa 1976 yakyalako mu Uganda nga yayitibwa ekitongole ki National Council of Sports okumala ennaku ssatu.

Waliwo emipiira gy’amasomero egyategekebwa ng’agamu ku massomero agasamba lye lya Kololo SS.

Munnamawulire Fred Musisi y’omu kubasamba omupiira guno ate ku lunaku olwokusatu waliwo omupiira ogwategekebwa mu kisaawe e Nakivubo, wakati wa Maroons ne Coffee,  era omu ku baasamba omupiira guno ye Dan Lutalo mukulu wa Fred Musisi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *